omukulu w’essomero bamukutte lwakubulankanya bukadde 200

Akulira essomero lya Mbarara High School Benon Twinomujuni wamu ne Bursar Micheal Namara bawerenemba n’ebigambibwa nti banyaga obukadde 200 wakati wa June 2017 ne February 2018 nga ssente zino zaali zakulaakulanya Ssomero lino. Ali Munira okuva mu offiisi ya IGG agamba nti bano bakwatiddwa oluvannyuma lw’okutemezebwako omuntu omu.

Bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’ekkooti evunaana abakennuzi mu Kampala bannyonyole kuky’okubulankanya ensimbi za Gavumenti wamu n’okukozesa obubi ofiisi zzabwe wamu n’okukiriza okufulumya ensimbi awataali biwandiiko birina kukolebwa. Bano beyimiriddwa ku kakalu ka Kkooti akobuliwo ka bukadde 10.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Tumukunde ne mutabani we banyiga biwundu lwa kukubwa kakebe ka tear gas.