Omukulu w’Ekika ky’Engabi Ennyunga asisinkanye Minisita Kyewalabye

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Minisita w’Obuwangwa, Obulambuzi n’Embiri, Oweek. Kyewalabye Male David, asisinkanye Omutaka Kannyana Kiwana Daniel, Omukulu w’Ekika ky’Engabi Ennyunga.
Omutaka awerekeddwako abakulu abatuula ku Lukiiko lw’Ekika okubadde: Mw. Muyunga Steven, Omwogezi era Omuwanika w’Ekika; Muky. Namatovu Florence, Omuwi w’Amagezi; Muky. Nakacwa Flavia, Omuwandiisi; Mw. Derrick Kintu Matovu, Oweebyemizannyo.
Ensisinkano eno egendereddwamu okwanjulira Minisita enteekateeka z’Ekika n’okutema empenda z’okuggusa enteekateeka ezo nga beeyambisa emikisa egibeetoolodde.
Oweek. Kyewalabye yeebazzizza nnyo Omutaka n’Olukiiko lwe olw’enteekateeka ez’enjawulo ze balina mu nkulaakulana y’Ekika. Abasabye beeyambise abazzukulu naddala abalina obukugu obw’enjawulo beenyigire mu mirimu gy’Ekika.
Share.

Leave A Reply

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro