Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 311 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nga…

December 15, 2025 · Radio Simba

Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nga bweyabbibwa akalulu mu bitundu bya Buganda ekisanja ekiwedde kyokka nawera nti ku mulundi guno ye n’Ekibiina kyakulembera ekya NRM nti ssi baakukkiriza kubbibwa bululu bwabwe nga bwekyakolebwa ku mulundi guli.
Museveni asinzidde mu kuggulawo okunonya akalulu mu bitundu bya Buganda mu Disitulikiti y’e Mubende nategeeza nti abawoza NRM yakola bubi mu Buganda bakyamu wabula yabbibwa obululu obuwera obukadde bubiri mu emitwalo 70 (2.7m) ekintu ekyabaleetera okuwangulwa mu Buganda olwobubbi.
Wabula Museveni aweze nti kino kyanogeddwa dda eddagala era ebyuma ebyaleeteddwa mu kalulu kano ebisoma ebinkumu tebigenda kukkiriza kubba kwa bululu era agambye nti NRM yaakuwangulira waggulu mu Buganda.
Bya Barbara Nabukenya
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026
#ProtectingTheGains

Radio Simba News