Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 852 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM
News

Omukubiriza wOlukiiko lwAbataka Abakulu AbObusolya, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, asabye Ssaabasajja Kabaka asiime Abataka

June 24, 2026 · Radio Simba

🎵 Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Abakulu Ab’Obusolya, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, asabye Ssaabasajja Kabaka asiime Abataka abatannayanjulwa eri Kabaka banjulwe mu ngeri yonna Omutanda gyanaaba asiimye.

Namwama okusaba kuno akukoledde mu Lubiri e Mmengo, Bajjajja Abataka Abakulu Ab’Obusolya bwe babadde basisinkanye Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, n’ategeeza Beene nti Ebika 4 byokka ku Bika 56 ebirina obutaka obwakubibwa mu ttaka ly’Obwakabaka, n’olwekyo basaba biddizibwe obutaka bwabyo era kubanga ensonga enkandaaliridde nnyo ekintu ekizingamizza enkulaakulana mu Bika.

Namwama era aloopedde Kabaka nti waliwo bannakigwanyizi abalina obuyinza nti bakozesa ssente okunyaga eby’obugagga by’Obwakabaka naddala ettaka ly’Ebika, ate ekisinga okwennyamiza tebafaayo kuwuliziganya ne bannanyini ku by’e nsasula kyokka nebasigala nga bakozesa ettaka eryo.

Abataka era basabye Ssaabasajja Kabaka atunule mu nsonga y’emisango gy’Ebika egikandaalirira mu kkooti ya kisekwa, nti kino kizi

Radio Simba News