Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 442 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omukozi w’awaka asindikiddwa mu nkomyo lwa kusiiga mwana myaka 2 ssiriimu

July 13, 2017 · Mubiru Ali

Omukozi w’awaka (House Maid) Jemima Nasifah eyeeyita Tumukunde Zainabu,  nga nzaalwa y’e Rwanda  yeyasimbiddwa mu kkooti ento eyooku City Hall mu Kampala ku maaso g’omulamuzi Esther Nahirya  n’avunaanibwa omusango gw’okusiiga omwana wa myaka ebiri obulwaddde bw’akawuka ka mukenenya. 

Oluuyi oluwaabi nga lukulemberwamu Jackie Kyasimire lwategeezezza kkooti nti Jemima Nasifa omukomba bokisi ono, wakati w’ennaku z’omwezi 30 Ssebaaseka ne 3 Kasambula omwaka guno mu bitundu by’e Kiwaatule mu zzooni y’e Kazinga mu Kampala,  ng’akimanyi bulungi nti alina akawuka ka mukenenya,  yasala ku ku mukono gwe ogwa ddyo, n’afuna omusaayi bwatyo n’agusiiga ku kiwundu omwana ono kyeyalina ku nnyindo.

Kyasimire yategeezezza kkooti nti Jamima yakwatibwa lubona mu kikolwa  nnyina w’omwana ono oluvannyuma lw’okuwulira nga omwana we akaaba. Wabula Jamima yeegaanye era n’asindikibwa ku alimanda e Luzira.