Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 251 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Omukazi Susan Magara ayabuuzibwawo azuuliddwa nga mufu

February 27, 2018 · Mubiru Ali

Police enkya ya leero ezudde omulambo gw'omukazi Susan Magara eyabuzibwawo gyebuvuddeko abantu abataategeerekeka bweyali addayo mu maka ge agasangibwa e Lungujja mu Divizoni y'e Lubaga.

Susan Magara ow'emyaka 28 nga kati z'embuyaga ezikaza engoye, abadde akola mu ddayale ya Kitaawe John Magara esangibwa ku luguudo lwa Kabakanjagala ng'omukwasi w'ensimbi era nga omulambo gwe gusangiddwa mu bitundu by'e Kigo ku luguudo olupya olw' Entebbe Southern Express. 

Luke Oweyesigire, omwogezi wa Police mu Kampala n'emiriraano akakasizza okufa kwa Susan Magara. Wabula ensonda ezeesigika ziraga nti aba Famire y'omugenzi baali baasalawo Police obuteeyingiza mu nsonga zino.