Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 170 listening Simba FM Live

Omukazi myaka 40 agambibwa okutunuza omulenzi wa myaka 15 mu mbuga ya Sitani – Kalangala

August 9, 2016 · Mubiru Ali

Police e Kalangala ekutte era n’eggalira omukyala nakampaata amanyiddwa nga Natale Annet ow’emyaka 40 ng’emulanga kusendasenda mulenzi wa myaka 15 n’amutunuza mu mbuga ya Sitani . 

Nantale nga mutuuze ku kyalo Bujumba – Kyondo kigambibwa nti ennaku bbiri eziyise bweyali ava okunywamu ku mwenge awo nga mu ssaawa eza kawoza masiga yasanga omwana ono n’amutwala mu lusuku n’atanula okunyumya naye akaboozi k’ekikulu era wano  nga y’akava mu kikolwa kino yalabibwa omu ku batuuze eyategeerekeseeko erya Kapeeka era ono n’abagulizako Police .

Twogeddeko ne Muwonge bba mukaya Annet kyokka n’awakanya eby’okukwata omwana era n’agamba nti ezo mpalana zaabwe ne Kapeeka nti zirudde okuva lweyamutwalako omwana .

Wabula ye akola  ku kugatta Police n’omutu wabuljjo ku kitebe kya Police ‘e Kalangala , Ngandu James akakasizza okukwatibwa kwa Nantale naye n’asuubiza nti yo nga Police egenda kukola okunoonyereza era bwekinaazuulibwa nga kituufu omukyala ono ajja kutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe .