Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 153 listening Simba FM Live

Omukazi atuze muganzi we lwa leediyo

May 16, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Kapchorwa ekutte omukazi ow’emyaka 25 ku bigambibwa nti yasse muganzi we gweyabadde ateebereza okubba natunda leediyo ye.
Tabisa Wekesa kigambibwa nti yatuze Micheal Kalafugo 40, omutuuze w’e Kapsuwet mu Muluka gwe Katono mu Gombolola y’e Kaserem. Kigambibwa nti abaagalana bano bagenze okunywamu ku ssaawa bbiri ez’ekiro wabula bwebakomyeewo omukyala nagoberera muganzi we namutuga. Okusinziira ku Poliisi Radio eno ebalirirwamu emitalo esatu.