Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 278 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omukazi asuulidde Police abaana 9 – Amuru

July 11, 2017 · Mubiru Ali

Police mu Disitulikiti y’e Amuru ekonkomadde n’abaana mwenda abagisuuliddwa omukazi Grace Akwero ow’emyaka 35 omutuuze ku kyalo Pagora ekisangibwa mu muluka gw’e Pupwonya ng’abaana bano yabasudde ku Police Post ye Atiak ku lwomukaaga lwa ssabbiiti ewedde.

Kigambibwa nti Akwero yasooka kuleeta musango ku Police ng’awaabira bba Santo Acaye  okwesuulirayo ogwa nnaggamba nga takyalabirira baana nabwekityo kwekusalawo aleete abaana ku Police kubanga kitaabwe yabasuulawo nga n’ekyokulya baakifuuwa mu mmindi.

Patrick Jimmy Okema, ayogerera Police mu bitundu by’e Aswa River  akakasizza bino era n’agamba nti abaana abasatu bamaze okutwalibwa ekitongole ekiyamba abaana mu kitundu ekyo.