Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 263 listening Simba FM Live

Omujaasi wa UPDF atirimbudde 7 e Kanungu

April 22, 2016 · Mubiru Ali

Omuserikale wa UPDF ku kyalo Mbulamayizi mu Disitulikiti ye Kanungu akubye abantu musanvu amasasi n’abattirawo nga ababiri ku bo bajaasi banne ate abataano bantu ba bulijjo.

Kiteeberezebwa nti entabwe evudde ku butakkaanya ne mukyalawe era yabadde amuyigga ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro.

Corporal Moses Kyatooka oluvanyuma lw’ekikolwa kino yeewaddeyo mu mikono gya Police.

Maj. Roland Kakulungu ayogerera amagye mu kitundu kino akakasizza bino.