Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Omugole owa week essatu asibye ebintu byabba

July 20, 2018 · Mubiru Ali

Hasifah Mudondo 22, akwatiddwa Poliisi lwakubba bintu bya muganzi we nga yakamala week 3 zokka mu bufumbo. Patrick Kusemererwa agamba nti Hasifah abadde amuteeka ku ninga nti ayagala ssente okugenda ewaabwe e Bududa okulaba ku nnyina omulwadde.

Wabula bbaawe bweyavudde awaka okugenda okugenda ku mulimu, ono yasibye ebintu bya bba omwabadde Essimu, TV, Hoofer, eggaali, engoye n’ebintu eby’omunju ebirala wabula nebasisinkana mukubo.
Patrick nga mutembeyi wangoye agamba nti yasisinkana Hasifah mu kirabo ky’emmere gyebatandikira omukwano era bwatyo namuwasa wabula oluvannyuma lwa week ssatu abadde kabiite ate afuuse kkondo.

Hasifah agamba nti ye yabadde akooye omusajja omukodo nga yefunidde oluvubuka oluto olugaba ssente.