Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 596 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

omuggaga Habib kagimu ali mukattu

February 23, 2019 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala Jane Elizabeth Alividza awadde omuggaga w’omu Kampala Hajji Habib Kagimu wamu ne banne enaku 60 zokka okubeera nga bamaze okusasula ddoola 275,480 nga mu za Yuganda ziweza akawumbi 1,011,562,560/= eri bbanka ua Commercial Bank of Africa (U) Ltd zebabanja.
Ku balina okusasula ssente zino kuliko; Hajji Kagimu, Habib Oli Ltd, Ahmed Noor Osman, Electro Maxx (U) Ltd. Ebizibu byatandika mu 2016 Bbanka eno bweyawaba omusango nga eyagala okununula ensimbi ddoola 934,346 wabula nga bwebaali bakyali mu kkooti enjuyi zombi zatuuka ku nzikiriziganya era Habib ne Banne nebakiriza okusasula ssente zino. Wabula bano bakizuula luvannyuma nti ssente zebaali bakirizza okusasula zaali nnyingi nnyo so nga baali bamaze n’okusasulako.
Bwebategeeza kkooti ku nsonga eno, kkooti okusaba kwabwe yakugoba wabula nebasalawo bajulire wabula omulamuzi Alividza yalagidde nti mu nnaku 60 zokka abawawaabirwa balina okusooka okusasula doola 275,480 kuba ze babadde bamanyi nti ze babanjibwa nga tebannagenda mu maaso na kujulira.
Mu kkooti, omulamuzi yasoose kubuuza balooya b’omuwaabi n’abawawaabirwa ssente mmeka entuufu, abawawaabirwa ze balina okusasula nga buli omu ayogera zize kwe kubafulumya wabweru beegeyeemu ssente entuufu abawawaabirwa ze bamanyi nti ze zisigaddeyo ze balina okusasula ne bakomawo ne bamutegeezza nti ziri doola 275,480.