Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 462 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omugagga w’amasomero ga St. Lawrence – Prof.Mukiibi afudde

May 28, 2017 · Mubiru Ali

Munnabyanjigiriza omututumufu mu ggwanga era omutandisi w’amasomero ga St. Lawrence, Colleges ne University Prof. Lawrence Mukiibi afudde enkya ya leero.

Prof. Mukiibi afiiridde mu Norvik Hospital ku Bombo road mu Kampala gyabadde okumalira ddala ebbanga lya ssabiiti ssatu nambirira oluvannyuma lw’okuweebwa ekitanda.

Lawrence Mukiibi gyebuvuddeko yagwa ku kabenje ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka awo nga anaatera okutuuka ku limu ku masomero ge erisangibwa okuliraana ebitundu by’ e Buddo ku luguudo olwo.

Wabula bweyatwalibwako ebweru n’ajjanjabwa era n’akomawo kyokka ate obulwadde nebumutabukira era nga kaakano bumuserengesezza e Zzirakumwa. Kitalo !