Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 350 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Omugagga Mbuga akubye ku matu, yasimattuse amagombe mu kabenje

June 19, 2017 · Mubiru Ali

Omugagga Bifeekeera  Sulaiman Kabandwa Mbuga aka SK Mbuga agenda akuba ku matu mu ddwaliro e Nakasero gyeyaddusiddwa ng’ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje olunaku lw’eggulo. 

Mbuga y’omu ku ba memba b’ekiwayi kya Rich Gang Crew era nga agambibwa okuba nga okugwa ku kabenje kano yabadde avuga Pikipiki ye ng’adda mu makaage e Buziga ku nkingiizi z’ekibuga Kampala. 

Waliwo engambo ezibadde zitandise okuyitingana ku mikutu gy’embikkulirwa kumanya (Social Media) nti mbuga yaaliba nga afudde naye omu ku bagenzeeyo okumulaba nga ye Frank Gashumba ategeezezza Luboggola Simba nti Binnyonkondo Mbuga agenda akuba ku matu. 

Agavaayo gagamba nti Binnyonkondo Mbuga abadde yaakagula Pikipiki eno nga agigezesa Wabula ate yasaaniddewo mu kabenje kano.