Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 356 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omugagga asaanyizzaawo emmere y’abatuuze 2000 – Mubende

November 1, 2017 · Mubiru Ali

Abatuuze abasoba mu nkumi ebbiri  (2000) boolekedde okutondoka enjala olwa nnyini ttaka asanyaawo emmere yaabwe yonna.

 Bano abali ku kanaayokya ani batuuze mu muluka gw'e Kayebe mu gombolola y'e Kitenga e Mubende. Abatuuze bategeezezza nti emmere yaabwe yonna okuli muwogo, ebitooke , lumonde ne kasooli abakozi b'o mugagga babisanyaawo kubiragiro bye ekibaviiriddeko okusigala nga tebalina kyakulya.

Bano bagamba nti balabidde awo nga omugagga Mercy Ddungu nga asindise abakozi nebatandika okusaawa emmere yaabwe nga bagala abatuuze okwamuka ettaka abatuuze kyebawakanya nti ettaka lino yabba libbe.

Omubaka omukyala owa Mubende nga ye Minisita omubeezi owa Kampala Nalongo Benny Bugembe nga aliwamu ne RDC wa Mubende Beyunga Florence ne Police batUuse mu kitundu kino okusobola okulaba ekibadde wabula kibaweddeko nga ensuku zonna ziri wansi ku ttaka nga omugagga ayagala kusimbamu miti. 

Nalongo Benny avumiridde ekikolwa kino era wano n'awera okunoonya omukyala ono okukwatibwa avunanibwe .