OMUDUUMIZI WA POLIISI ATONEDDE ABASIRAAMU KU UMSC EBYOKUSIIBULUKUKA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
OMUDUUMIZI WA POLIISI ATONEDDE ABASIRAAMU KU UMSC EBYOKUSIIBULUKUKA: https://youtu.be/EJWBxseq2v0
Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP Okoth Martin Ochola ku lwa Poliisi ya Yuganda olunaku olwaleero atonedde abayisiraamu abali mu kisiibo omuceere kiro 2000 wamu ne ssukaali kiro 1000 nga bino bikwasiddwa Omuwandiisi wa Uganda Muslim Supreme Council – UMSC Sheikh Muhammad Murshid Luwemba, ku lwa Mufti wa Yuganda Sheikh Ramathan Mubaje.
IGP akiikiriddwa Hajji AIGP Abbas Byakagaba, nasiima nnyo UMSC olwomulimu ogwetendo gwebakoze okuweereza obusiraamu, okukuuma emirembe wamu n’okugondera amateeka wamu n’okukubiriza abagoberezi baabwe okugondera amateeka ga

Ministry of Health- Uganda

okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19. Ye Secretary for Religious Affairs UMSC, Sheikh Muhammad Murshid Luwemba, bwabadde akwasibwa ebintu bino yebazizza nnyo IGP olwokulowooza ku Basiraamu naddala mu kaseera kano ak’ekisiibo era nasuubiza okukolera awamu ne Poliisi.

Share.

Leave A Reply