Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 260 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

omuccayina eyazaala mu muwala bamututte ewa minisita

February 7, 2019 · Mubiru Ali

Omuccayina eyazaala mu muwala Munnayuganda omwana n’amufunyisa n’olubuto olulala wabula n’agaana okuwaayo obuyambi abadde agezaako okudduka okufuluma eggwanga Minisita w’abavubuka n’abaana Nakiwala Kiyingi n’alagira ne bamukwatira ku kisaawe e Ntebe.
Zhang Wensong omu ku Bamaneja ba kkampuni ya CCCC Construction Co. ye yakwattiddwa ku kisaawe e Ntebe ku biragiro bya Minisita Nakiwala Kiyingi ne bamugaana okufuluma eggwanga okutuusa ng’amaze okugonjoola ensonga z’okuzaala mu muwala Jucinta Kiconco 23, ate n’agaana okumulabirira n’omwana waabwe.
Zhang yaleeteddwa mu ofiisi ya Minisita Nakiwala oluvannyuma lwa Kiconco n’aba famire ye okumutuukirira gye buvuddeko nti waliwo Omuccayina ng’era ye maneja wa kkampuni ya CCCC construction Company e Katachwi ekola enguudo eyamuzaalamu omwana n’amufunyisa n’olubuto olulala.
Wabula bwe baamutuukirira okumuwa obuyambi ne yeerema nga n’okutuusa kati takyayagala kumulabako.
Ono Zhang minisita bwe yamuwandiikidde ebbaluwa ng’amuyita mu ofiisi ye n’agaana okugendayo.
Zhang yakkirizza okuweerera bebbi Atwisingere 4, nga buli ttaamu amuwa 300,000/- ez’obuyambi 500,000/- buli mwezi, kaadi ya yinsuwa okujjanjaba omwana ne maama ali olubuto.