Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 147 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Omubiri gwa Minisita Engola gutwaliddwa e Lira

May 11, 2023 · Mubiru Ali

Omubiri gw’abadde Omubeezi wa Minisita ow’abakozi n’ekikula ky’abantu Trd. Col. Charles Engola guteereddwa mu nnyonyi ekika kya namunkanga ey’eggye lya UPDF enkya yaleero ku kisaawe e Kololo okutwalibwa e Lira ku kisaawe kya Lira Secondary School abakungubazi gyebagenda okugukubirako eriiso evannyuma. Oluvannyuma wano gujja kutwalibwa ku butaka mu Disituliki y’e Oyam gyagenda okuziikibwa.