Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Omubbi w’amatooke akubiddwa essasi mu kabina – Masaka

July 18, 2016 · Mubiru Ali

Omusajja Alex Lukwago  eyatoloka mu kkomera ekkulu e Masaka akubiddwa essasi mu kabina bw’akwatiddwa lubona ng’abba amatooke mu nnimiro y’ekkomera . 

Alex eyali yaweeba ekya Katikkiro ng’akyali  mu kkomera lino ery’e Butenga abadde akomawo mu bubba n’abba amatooke okuva mu Lusuka lw’ekkomera lino wabula nga ku luno akwatiddwa lubona ekyasi nekimulya .

Omusasi waffe okuva e Masaka Margret Kayondo agamba nti omu ku baserikale b’ekkomera lino yasazeewo okusula mu nnimiro eno ng’akuuma era yabadde ali awo ku maliiri nga Lukwago agguse n’atema ettooke erisooka wabula yabadde atema eryokubiri n’amukuba ekyasi mu kabina nga kati omusajja ono addusiddwa mu ddwaliro eriri okumpi bamusokoolemu essasi .