Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 433 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Omubbi wa Bodaboda akumiddwako omuliro – Masaka

February 10, 2017 · Mubiru Ali

Ateeberezebwa okuba omubbi wa Bodaboda akubiddwa emiggo egimuserengesezza ekalannamo n’omulambo gwe negukumwako omuliro abagoba ba Bodaboda ababadde tebasalikako musale mu kibuga Nyendo e Masaka.ย 

Attiddwa wamu ne munne asobodde okusimattuka amagombe, bagambibwa okuba nga baapangisizza owa Bodaboda abatwale mu kifo ekimu ku luguudo olugenda e Bukakkata, naye bwebaatuuse mu kkubo nebamukyama mu kabaala nga bagamba nti bo bamala kunywamu ku kenge balyoke beeyongereyo.

Omusasi waffe e Musaka, Margret Kayondo atutegeezezza nti ababbi bano baatadde kalifoomu mu by’okunywa by’omugoba wa Bodaboda oluvannyuma nebakuuliita ne ppikiye .