Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 654 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Omubbi atiddwa e Ssentema

June 11, 2019 · Mubiru Ali
Waliwo omubbi atanategeerekeka mannya eyayingidde mu maka g’omusirikale okuva muggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga L/Cpl Amumpiire Jonathan agasangibwa ku kyalo Gayaaza, mu muluka gw’e Ssentema mu Gombolola y’e Kakiri.
Jonathan nga ayambibwako balirwana be yasobodde okutta omubbi ono. Omubbi yabadde n’emmundu ekika kya SMG S/N NH396796 n’amasasi 28 nga emmundu eno yaggye lya UPDF eyabibwa okuva mu nkambi y’e Kakiri mu kibinja ekisooka okuva ku Pte Ojuka Tony RA 209427 nga kati atemeza mabega wamitayimbwa.