Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 312 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Omubazi w’ebitabo mu Ministry ya Science, Technology and Innovations (MOSTI)akwatiddwa lwakufere muntu obukadde 120m ku ttaka

October 25, 2018 · Mubiru Ali

Geoffrey Auyit Odongu, akwatiddwa ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku ttaka ekya Lands Police Protection Unit (LPPU) nga kisangibwa ku kitebe kya Criminal Investigations Directorate (CID) e Kibuli nga kiva ku musango ogwamuwawabirwa Robinnah Tushemerirwe. Robinnah agamba nti yagula ettaka ku Odongo mu March 2017 wabula okuva olwa nagaana okumuwa ekyapa okusobola okukikyuusa. Tushemerirwe agamba nti Odongu yamulambuza ettaka eriweza decimals 21 nga lisangibwa Kyanja, era nalisasula obukadde 120 namugamba nti ekyapa yali wakukifuna mu wiiki bbiri.

Robinnah agamba yafunamu okwekengera Odongu bweyatandika okwebuzaabuza, era bwakwatiddwa awulidde nga aswala nnyo bwatyo nasaba bateese ne Robinnah wabula nekirema kuba ekyapa tabadde nakyo.

Tushemerirwe agamba nti okuteesa n’ono alina kuba nga alina ekyapa kye era tagenda kukiriza kuddizibwa ssente kuba mweteefuteefu okutandika okubaaako byakolera ku ttaka lino.