Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Omubaka Zaake ab’eddwaliro bamunoonya okumusiibula

September 30, 2018 · Mubiru Ali

Radio Simba ekitegeddeko nti Omubaka wa Mityana Municipality Hon. Francis Zaake takubibwako kimunye mu ddwaliro lya Manipal Hospital erisangibwa mu India gyeyatwalibwa ab’Enganda ze okufuna obujanjabi obusingako oluvannyuma lwebigambibwa nti ono yatulugunyizibwa abajjaasi ba Special Forces Command (SFC).

Ebbaluwa okuva mu ddwaliro lya Manipal Hospital gyetulabyeko era nti Hon. Zaake yali wakusiibulwa okuva mu ddwaliro nga 14-Sept-2018, wabula kigambibwa mbu ono yava mu ddwaliro nga 13-Sept-2018 nga tanasiibulwa.

Bwetugezezaako okwegeraganya na b’ekitebe kya Uganda mu New Dehli batutegezeza nti amayitire ge tebagamanyiiko.

Wabula bwetwogeddeko n’aba Family ye batutegezezza nti ekyo bawulidde kipya wabula kyebamanyi nti akyali ku kitanda mu ddwaliro mu India.