Omubaka w’omukago gwa Bulaaya mu Uganda, akyadde e Mengo

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye Omubaka w’omukago gwa Bulaaya (European Union) ATTILIO PACIFICI ku Bulange e Mengo.

Boogedde ku nsonga eziwerako nga muno mwemuli n’enteekateeka ezikwata ku Bavubuka abali mu bifo by’enzigotta mu bibuga. Katikkiro agambye nti, Bavubuka bangi bali eyo beesiwa ebiragalalagala, abalala omwenge gubamazeeyo, bangi tebalina mirimu, ebifo byebasulamu embeera zaabyo tezisanyusa, n’olwekyo ab’omukago gwa Bulaaya baagala okumanya bayinza kukolagana batya n’obwakabaka okutunula mu mbeera z’abavubuka abali mu nzigotta oluusi embeera ezibafuula abamenyi b’amateeka.

Omubaka ATTILIO, ategeezezza nti waliwo obwetaavu mu Uganda okukubiriza abalimi okulima ebirime mu bungi ate ebirinyisiddwa omutindo ebisobola okuvuganya obulungi mu katale ka Bulaaya.
ATTILIO, abadde wamu n’akulira eby’emirimu ku kitebe ky’omukago gwa Bulaaya, Cedric Melwel.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Museveni’s lawyers punch holes in Mbabazi’s submission to the EC