BREAKING NEWS
Observer: Uganda, Burundi proudly represented through Australia at World Cup Observer: Until governments act, Africans will seek Western citizenships MBU: I thought I was too cool to get HIV – MC Kats reveals mystery MBU: King Saha announces 2026 concert at Kololo Independence Grounds Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General Pulse Uganda: Lukwago taken from home by security operatives Pulse Uganda: Nigerian producer ePianoh urges more collaborations with Ugandan artistes

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Omubaka Winnie Kiiza awagira eky’abasawo okwediima

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti, Winnifred Kiiza awagira eky'abasawo okwediima nga agamba nti kikyamu nnyo Gavumenti okukaka abasawo okudda ku mirimu nga tebawadde bikozesebwa omuli eddagala, ggilaavuzi n'ebintu ebirala.

Kiiza bw'abadde ayogerako mu lukungaana lwa Bannamawulire nga asinziira ku Palamenti ategeezezza nti Gavumenti erina okusooka okunoonya ebikozesebwa mu malwaliro wamu n'okwongeza abasawo omusaala olwo abasawo balyoke baddeyo ku mirimu.

Omubaka alaze obwennyamivu olw'okuba nti Gavumentu bweyali esoma embalirira y'eggwanga,  yateeka ssente kumpi obuse bubiri ku by'obulamu wabula ate abasawo bagenda mu maaso n'okwekalakaasa era wano n'asaba Gavumenti eby'obulamu ebiteeke ku mwanjo nnyo mu kifo ky'ebyobufuzi n'anguudo nga eno bannansi batondoka .

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply