Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 231 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Omubaka Wadiri akyaddeko ewa Kawuma

October 20, 2018 · Mubiru Ali

Kyaddaaki Omubaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga owa Arua Municipality Ezati Kasiano Wadiri amaze nagenda okusaasira Ab’enganda ya kawuma Yasini. Kati gibadde ginatera okuwera emyezi 2 bukyanga Kawuma attibwa bweyali mu Arua nga banonyeza Wadiri akalululu akamuyingiza mu Palamenti nga talinnyanga mu maka g’omugenzi.
Kinajjukirwa nti gyebuvuddeko Muganda w’omugenzi Yasin Male Thabeat yavaayo nakukulumira Wadiri obutabajjukira ng’ate mugandawaabwe yafira ku mulimu ggwe wabula kati asiimye Wadiri okugendako mumaka gaabwe.
Ye Kasiono Wadiri abadde awerekedwako banne abalala 12 okuva mu Arua abasasidde kwebyo ebyatuukawo era nabetondera okulwawo okugendayo. Ono abatwlidde akasawo k’omucceere, akasawo k’obuwunga awamu ne sukaali era nasuubiza okubayamba kukuweerera bamulekwa era nabasaba bamuwereze nembalirira ya Duwah ya Kawuma egenda okubeerawo nga 31/12/2018 abakwatireko.