omubaka wa makindye east alondeddwa okumyuka ssentebe w’akakiiko ka cosase

Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change avuddeyo n’awandiikira Nampala w’oludda oluvuganya mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Ibrahim Ssemujju Nganda nga amutegeeza nga bwebalonze Omubaka wa Makindye East Ibrahim Kasozi ng’omumyuka wa Ssentebe w’akakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka Committee on Commissions, Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE).
Ono azze mu kifo kya Moses Kasibante eyali asoose okulondebwa wabula omukubiriza w’olukiiko olukulu Rebecca Alitwala Kadaga namulonda ku Kakiiko akalala.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
E namboole teri byabufuzi – Poliisi