Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 468 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Omubaka Sirwanyi (NRM) attunka na gwa kwokya mmotoka ya eyali muganzi we

October 17, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Bukooli Central mu Disitulikiti y'e Bugiri, Solomon Sirwanyi (NRM) akyatuuyana n'omusango mu kkooti nga avunaanibwa ogw'okwokya emmotoka ya eyali muganzi we mu 2016.

Okusinziira ku mulamuzi Matyama Paul owa kkooti ento e Nabweru , Omubaka Solomon Sirwanyi mu mwaka gwa 2015 yeeyazika emmotoka ku Katono Kasifa eyali muganzi we , wabula oluvannyuma emmotoka n'ekwatira omuliro e Namataba okuliraana Namagunga kyokka omubaka n'asimattuka n'ebiwundu.

Katono Kasifa ayagala Sirwanyi azzeewo emmotoka ye ate asasule n'ensimbi zonna z'asaasaanyizza mu musango guno.