Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 182 listening Simba FM Live
News

Omubaka Nsibambi naye atadde omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu kkamisona

May 29, 2024 · Mubiru Ali

Nampala w’Ababaka ba Forum for Democratic Change mu Palamenti akiikirira Mawokota South Yusuf Nsibambi avuddeyo nagenda okuteeka omukono ku kiwandiiko ekiggyamu ba Kkamisono ba Palamenti 4 abegemulira akasiimo akaweza ensimbi akawumbi 1 mu obukadde 700 so nga ate baali bafuna obukadde 23 nga ngomusaala buli mwezi. Ono yegaanye okuba nakakuku konna ku bantu bano 4 netegeeza nti okukola kino yagenderedde kuwa abavunaanibwa omukisa okunnyonyola Bannayuganda ku ngeri gyebabadde batambuzaamu emirimu mu Palamenti. Ono agamba nti bano bonna abawa ekitiibwa kuba bakiikirira bantu nti wabula asuubira nti Bannayuganda balina okumanya engeri Ababaka gyebakolamu emirimu nti era balina okubeera abeerufu mu buli kyebakola.