Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa.
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
Omubaka Nambooze akomyewo mu ggwanga
August 4, 2018 · Mubiru Ali
Omubaka wa Mukono Municipality Betty Nambooze Bakireke akomyewo mu ggwanga okuva e Buyindi mu ddwaliro lya Manipal. Ono amazeeyo omwezi mulamba nga ajanjabwa omugongo ogwaddamu okutabuka oluvannyuma lw’okukwatibwa ku byekuusa ku kuttibwa kw’omubaka Ibrahim Abiriga ne Muganda we mu June.
