Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 666 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

OMUBAKA LUTTAMAGUZI BAMULEMESEZZA OKUGABA EBINTU BYAGULIDDE AMALWALIRO G’EKITUNDU KYE

November 16, 2021 · Mubiru Ali
Omubaka wa Nakaseke South MP, Paulson Luttamaguzi akyatubidde n’ebintu byeyali aguze okugabira abantu bo mu kitundu kyakiikirira oluvannyuma lwa Poliisi okumulemesa okubigaba.
Luttamaguzi yabadde alina okugaba emifaliso gy’eddwaliro, entebe n’emipiira eri amalwaliro ga Gavumenti mu kitundu kye wamu n’ebibiina by’abavubuka mu Kabuga k’e Ssemuto.
Okusinziira ku mwogezi wa Uganda Police Force mu ttundutundu lya Savanna Issa Semwogerere, agamba nti Omubaka yabadde ategese omukolo nga tategeezezza Poliisi mu Disitulikiti y’e Nakaseke.
Abantu ababadde bakuŋŋaanye ku Ssemuto Health Center IV bakandadde okumala akaseera nga tebanagobwawo.
Luttamaguzi yafundikidde ebintu abitutte mu maka ge mu Gombolola y’e Kasangombe nategeeza Bannamawulire nti basoose kumukubira ssimu nga bamulabula obutagenda mu maaso n’omukolo gwokugaba ebintu.