Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omubaka Kyagulanyi ali mu mbeera mbi nnyo – Lukwago

August 17, 2018 · Mubiru Ali

Munnamateeka Erias Lukwago agamba nti benyodde n’amaggye okusobola okukirizibwa okulaba Omubaka Kyagulanyi. Bano babadde n’abakakiiko akalera eddembe ly’obuntu wamu naba Family ya Kyagulanyi okuli Eddy Yaweh wamu ne Barbie Itungo Mukyala we. Omusawo wa Family ye aganiddwa okuyingira okulaba omulwadde.

Lukwago agamba nti Kyagulanyi aleteddwa nga asituddwa bannamaggye nga tasobola kutuula wadde okutambula, amaaso agamba gabadde gonna gazimbye wamu ne face nga ezimbye tasobola kulaba bulungi. Agamba nti alina obulumi mu mugongo n’embiriizi wabula nta tafuna bujanjabi bwonna.

Agamba nti amaggye gagezaako kusala magezi okulaba nga gamutwala mu ddwaliro nabo lyebatanamanya. Amaggye gagaanye okwogera wa gyebagenda okutwala Kyagulanyi.

Lukwago agamba nti buli omu asobodde okulaba ku Bobi Wine ayozezza ku munye kuba ali mumbeera mbi nnyo era nga yetaaga obujanjabi mangu.