Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 331 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Omubaka Kasibante akukkulumira Sipiika ku kibonerezo kya Kibuule

September 28, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Lubaga ey’amambuka alaze obwennyamivu ku kibonerezo Sipiika wa Palamenti Kadaga kyeyawadde omubaka Ronald Kibuule owa Mukono ey’amambuka olw’okuyingiza emmundu mu kisenge kya Palamenti mwebateeseza.

Kubuule yawereddwa  Sipiika obutadda mu Palamenti okumala entuula ssatu oluvannyuma lw’ababaka basatu abamu ku b’oludda oluvuganya Gavumenti okwemulugunyiza Sipiika nti Kibuule yayingira n’emmundu mu lutuula lwa Palamenti olwaliyo ku lwokubiri era ayalimu okwalwanagana .

Kasibanti asinzidde mu makaage agasangibwa  e Lungujja Kosovo n’agamba nti kyabadde kyabulyazaamaanyi nnyo Sipiika okumuwa ekibonerezo ky’ekimu n’abalala .