Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 355 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omubaka Kamugisha (NRM) awakanya eky’okugikwatako

November 2, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti akiikirira essaza ly'e Kajara , Micheal Kamusisha era nga wa kibiina kya NRM agamba nti ssiwaakuwagira kuggya kkomo ku myaka gya Pulezidenti kubanga abalonzi tebakkiriziganya nakyo.

Bw'abadde ayogerako ne bannamawulire ku Palamenti enkya ya leero, Kamugisha agambye nti eky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti abantu abasinga obungi kibawunyira ziizi era bakisimbidde ekkuuli nga nebwokungaanya abantu n'obawa ssente , beefuula abawagira ekitooso ky'okugikwatako songa tebakiriiko.

kati kitegeeza nti Kamugisha yeegasse ku babaka ba NRM omuli  owa Disitulikiti y'e Soroti  Monica Amoding,  owa Lwemiyaga Theodore Sekikubo ne owa  Manjiya , John Baptist Nambeshe okuwakanya eky'okugikwatako.