Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 322 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omubaka Kakooza agugumbudde RDC w’e Mubende, bya ttaka

July 18, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti ow’essaza ly’e Buweekula, Rtd. Maj. Kakooza agugumbudde omubaka wa Pulezidenti e Mubende, Florence Beyunga olw’okukozesa yafeesi ye n’emmundu okugoba abantu ku ttaka.

Kino kiddiridde abatuuze okuva ku byalo bina omuli ; Kannyogoga, Kifumbira, Kagezi ne Lwebaga ebsangibwa mu ggombolola y’e Butoloogo e Mubende okulumiriza RDC Beyunga olw’okwekobaana n’omugagga Donald Kananura nebalyoka babagobaganya ku ttaka nga mwotwalidde okubakubamu omukka ogubalagala wamu n’emigiba nte nga kwotadde n’okusanyaawo emmere yaabwe.

Wabula ye Kananura Donald omugagga ayogerwako ategeezezza ku nssimu nti ettaka lino lirye era n’asambajja eby’okutulugunya abantu!