Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 345 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

omubaka kabaziguruka agudde ku kabenje

March 10, 2019 · Mubiru Ali
Omubaka akiikirira Nakawa mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Michael Kabaziguruka agudde ku kabenje mmotoka mw’abadde atambulira bw’etomeraganye n’endala. Kabaziguruka nga munnakibiina kya Forum for Democratic Change akabenje akafunye ku makya ga leero era atwaliddwa mu Matugga Health Centre ku lw’e Bombo okufuna obujanjabi obusooka.
Akabenje akafunidde ku luguudo lw’e Bombo. Wabula agaavuddeyo gaategeezezza nti omubaka yabadde tali mu mbeera mbi era ng’abasawo babadde bamaze okutangira eky’omusaayi ogubadde gumuvaamu.