Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 151 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Omubaka Kabaziguruka agabudde Eid

July 5, 2016 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti owa Nakawa Michael Kabaziguruka nga kati ali mu kabula muliro agabudde ebirabo bya Eid egenda okubaawo enkya ku lwokusatu ย eri abalonzi be mu mizikiti nga emizikiti egisoba mu kkumi buli gumu gufunye ensawo y’omuceere, ebbaasa ne bbokisi z’amazzi.

Ng’awaayo obubaka bwa omubaka Kabaziguruka eri abayisiraamu , Kansala omukyala owa Nakawa ii Happy Nasasira abasabye nga bamalako omwezi omutukuvu ogwa Ramadan basabire nnyo Dr. Kizza Besigye n’omubaka waabwe basobole okuvvuunuka akaseera akaakazigizigi kebalimu .

Nasasira agamba nti omubaka waabwe ali nabo mu mwoyo newankubadde nga tebasobola kumulaba .

 

Emizikiti egifunye ebirabo bino mulimu ogw’e Banda, Kimeze Luzira , Portbell, Kitintale Mutungo Parish,Kyanja, Bukoto ne Ntinda .

Wabula akubirizza abayisiraamu okuyimirirawo ku magulu gaabwe okuvumirira obutali bwenkanya obuli mu ggwanga .