Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 1,958 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

omubaka eyiye omusaayi okugoba emisambwa

December 17, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka wa Bunya East mu Disitulikiti y’e Mayuge, Waira Kyewalabye Majegere mu kifo ky’okukunga abantu bakwate enkumbi, ejjambiya n’ebitiiyo bakole bulungibwansi, azze mu kuyiwa musaayi mbu agobe emisambwa egibadde giviirako abantu okufa n’okubalemesa okulima oluguudo. Bino byabadde ku kyalo Ivugunu ne Kikubo mu ggombolola y’e Buwaaya mu disitulikiti y’e Mayuge.
Majegere yabadde aleese kkampuni emu okukola oluguudo luno kyokka abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’eggombolola y’e Mungwe, Sulaiman Kato ne bamutegeeza nga bw’atawaanira obwereere kubanga waliwo omusambwa ogwabalemesa okulima oluguudo luno nga n’oluusi gutta abantu abayitawo.
Naye kye yakoze kwe kutumya enkoko ne bagisala kye yayise okusabira omusambwa guno.
Abamu ku bataka baabasekeredde nga bagamba nti ebbanga lye bamaze ku nsi erisukka mu myaka 55 tebalabangako ku muntu aleese ttulakita okulima oluguudo luno nga n’abantu abasoba mu 10 be baakafiirawo.