Omubaka Betty Nambooze Bakireke mwenyamivu eri Speaker

Omubaka Betty Nambooze Bakireke avuddeyo nayanukula Speaker wa Palamenti Right Hon. Rebecca Kadaga eyamuwandiikidde ebbaluwa nga amunenya okwebulankanya mu ntuula za Palamenti wamu n’ezobukiiko.

Ono agamba yabadde asuubira kkaadi emusabira awone mangu, naye ate yalabye bbaluwa emunenya. Ono agamba nti Speaker akimanyi bulungi nti mulwadde era amukyalidde emirungi mingi wamu ne Palamenti okumusasulira ebisale by’eddwaliro.

Nambooze agamba nti alagidde bannamateeka be okuwawabira Attorney General okumuliyirira olw’obuvune bweyatuusibwako nga ali ku mirimu gya Gavumenti wamu n’emisango egitalina makulu gyebamugulako.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
omugoba w’ennyonyi egudde enkya yaleero yasabye akomewo ku kisaawe