Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 409 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Omubaka bamututte mu Kkooti lwa bbanja

June 20, 2019 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti y’e Nabweru afulumizza ekibbaluwa kibakuntumye eri Omubaka akiikirira Kibuku County Hon. Herbert Kinobere lwakulemererwa kusasula nsimbi zabupangisa ezimubangibwa obukadde bubiri mu emitwalo 70.
Okusinziira ku biwandiiko biraga nti Omubaka aweereddwa wiiki 2 zokka nga asasudde ebbanja lino oba okuwaayo okwewozaako kwe mu Kkooti.
Kigambibwa nti Omubaka ono yali yapangisa ennyumba ya Mw. Goefrey Mpanga esangibwa e Lugoba okuva mu 2010 wabula mu Febuary wa 2019 yava mu nnyumba eno mweyali atadde eddwaliro eryali limanyiddwa nga Community Health Plan nga tasasudde bbanja.