Omubaka akukuluma lwa Poliisi kulwawo kumuggya kukubo weyafunidde akabenje

Omubaka akiikirira Erute North mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Charles Angiro Gutmoi yagudde ku kabenje olunaku lw’eggulo ku luguudo oluva e Gulu okudda e Kampala.
Gutmoi yabadde atambulira mu Toyota Noah UAV 089G yatomereganye ne Fuso nnamba UAJ 730U. Ono yayambiddwa abantu ababadde batambulira mu Fuso okusobola okumutema mu Motoka.
Gutmoi agamba nti kyamubuseeko okumala essawa nnamba kukubo nga Poliisi tenatuuka kumuyamba. Bwebamututte mu Ddwaliro ly’e Kiryandongo kyamuweddeko obutasangayo ddagala lyebayinza kumuwa kukkakanya obulumi. Gutmoi agamba nti bwekyatuuse okumuleeta e Mulago kyamubuuseeko bwebamugambye nti ate alina okugula amafuta.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ow’emyaka 2 afiiridde mu kidiba – Mityana