Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 225 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

omubaka agudde ku kabenje

December 28, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka akiikirira Aruu County mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Odonga Otto asimatuse okufiira mu kabenje enkya yaleero ku luguudo oluva e Gulu okudda e Kampala bwabadde avuga adde e Kampala. Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi Emilian Kayima agamba nti akabenje kaguddewo ku ssaawa nga kumi neemu kitundu ez’okumakya e Katuugo mu Nakasongola emotoka y’omubaka
Prado UBA 832S bweyingiridde trailer nnamba UAV 837J/UAD 991Q ebadde ku mabbali g’oluguudo wabula nga ekitundu ekimu kiri mukubo.Otto ali mu ddwaliro lya Bishop Asili Lacor Hospital Luweero nga bwafuna obujanjabi era nga enteekateeka zigenda mu maaso okumuleeta afune obujanjabi obusingawo.