Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 131 listening Simba FM Live

Omu ku bavubuka ba Sauti ya Vijana abuziddwawo

July 29, 2016 · Mubiru Ali

Ekibinja ky’abavubuka abegattira mu kiwayi kyabwe ekya Sauti ya Vijana bavuddeyo nebassa Gavumenti ku nninga nga baagala enoonyereze ku kubulawo kwa munnaabwe Peter Mukisa myaka 28 eyabuzibwawo gyebuvuddeko okuva gy’abadde abeera e Lugoba .

Abavubuka bano abakulembeddwamu Muzeeyi Bwanika bagamba nti Mukiibi yabula nga 25 ku bbalaza ya wiiki eno ng’agenze okusisinkana ekibinja kya ba memba abalala era okuva olwo taddangamu kukubwako kimunye .

Abantu bano bagamba nti yandiba nga yabuzibwawo abatamanya ngamba nga omu ku kaweefube ow’okutiisibwa  okuva mu bitongole by’ebyokwerinda .

Ban0 bagamba nti balaze obutali bumativu bwabwe olwa Demokulasiya agenda aseresba mu ggwanga nga buli muntu akavaayo okwogera ku nsonga ez’enjawulo atulugunyizibwa .

Wabula wetukoledde eggulire lino nga abavubuka bano bali mu ggwanika e Mulago okuwenja munnaabwe .