Breaking
News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 491 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Omu akwatiddwa kulwe kiteberezebwa okuba bbomu ekibwatukidde okuliraana Yunivasite ye Nkumba

May 15, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ezinzeeko ekifo e Nkumba mu ttawuni ye Nkumba mu Wakiso awabwatukidde ekintu ekisuubirwa okubeera bbomu ekiro ekiyise ku ssaawa nga ttaano ez’ekiro.

Mw. Anvuko Richard nga ono ye Asst O.C/CID agamba nti abasirikale okuva mu kitongole kyaayo ekya bomb squad batuuse mu kifo kino kwongera okwekeneenya wamu n’okukola okunoonyereza kuki ekibwatuse era nga mpaawo muntu yalumiziddwa wadde okufa.

Mw. Byamugisha John, nga on ye OC avunaanyizibwa ku bikwekweto ku poliisi ye Entebbe agamba nti kiteberezebwa nti kyandiba nga okubwatuka kuno kwavudde ku masanyalaze amabibbirire. Wabula epipapajjo bigiddwa mu kifo kino nebitwalibwa okwongera okwekeneenyezebwa.

Omuntu omu yakwatiddwa nga ono yabadde apangisa ennyumba okubwatuka mwekwabadde natwalibwa ku poliisi okwogera okunnyonnyola kiki ekyabaddewo era nga ategerekeseeko erya Ishoke.