Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 210 listening Simba FM Live

Omu akubiddwa essasi naafa nga Poliisi etaasa abadde awamba omwana

June 8, 2018 · Mubiru Ali

Omuntu omu akubiddwa essasi n’afiirawo ate omulala nabuukawo n’ebisago ebyamaanyi mu ttawuni ye Busia poliisi bwekubye mu bantu amasasi wamu ne ‘Tear Gas’ okugezaako okugumbulula abatuuze ababadde balumbye poliisi okukuba  eyabadde ateberezebwa okuwamba omwana.

Eyafudde ye Fred Musiba omutunzi w’ennyanya mu katale ka Sofia ne Musa Mayende eyalumizddwa nga yawereddwa ekitanda mu ddwaliro e Tororo n’ebiwundu ebyamaanyi ku kisambi.

Olutalo lwavudde ku lugambo olwatambudde nga bagamba nti waliwo omusajja eyabadde akwatiddwa mu ppaaka ya Takisi e Busia n’omwana nga amutadde mu kisawo natwalibwa ku poliisi ye Busia bwebatyo nebalumba poliisi nga bagisaba omusajja ono bamwekolereko wabula poliisi negaana. Abatuuze batandise okukasukira abasirikale ba poliisi amayinja ekyaletedde poliisi okubakubamu omukka ogubalagala n’amasasi okubagumbulula.

District Police Commander, Mr Eriya Elepot, yakakasizza kino wabula n’agamba nti omusajja ono munansi wa kenya teyasangiddwa na mwana yenna wabula yabadde n’ensawo ennene nga anoonya nyumba yakupangisa.