Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 775 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje okuliraana Namboole

January 3, 2018 · Mubiru Ali

Waliwo omuntu omu atategeerekese mannya afiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde okuliraana ekisaawe ky'e Namboole enkya ya leero  oluvannyuma lw'omugoba wa Takisi okukyukira mu luguudo bw'etyo lukululana y'amafuta n'emwambala. 

Luboggola Simba eyogeddeko n'omwogezi wa  Police y'ebidduka Charles Ssebambuulidde n'ategeeza nti Takisi nnamba UAV 308 P ebadde edda e Bweyogerere bw'erengedde abasaabaze omugoba n'agikyusa okugizza e gy'eva bwetyo lukululana y'amafuta ebadde edda e Kampala n'egitomera era okukkakkana nga ye Kkondakita akaliddewo ate omudereeva n'ayisibwa bubi nnyo. Babaddemu babiri bokka mu Takisi . Kitalo