Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 245 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Omu afiiriddewo, 2 basimattuse amagombe – Matugga

February 20, 2017 · Mubiru Ali

Omugoba wa Bodaboda afiiriddewo mbulaga ate abakyala abalala babiri baabadde aweese nebaddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka mu kabenje akagudde e Matugga mu Wakiso  ku luguudo olugenda e Ssemuto.

Abeerabiddeko n’agaabwe bategeezezza Luboggola nti bano bakooneddwa mmotoka Kika kya Isuzu nga olubakoonye edduse buddusi. Wabula owa Boda tategeerekese mannya ge so abakyala baabadde aweese bategeerekeseeko erinnya limu limu erya  Sophia ne Olivia.

Police eggyewo omulambo gw’owa Boda n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e  Mulago so ate n’abalumiziddwa batwaliddwa mu ddwaliro ly’erimu. Kitalo.