Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Oluzungu telundetera mmere ku sowaani

July 21, 2018 · Mubiru Ali

Mwana muwala Spice Diana nantagwesa bisesa nga ono buli lukya aleetawo okwewuunya mu mitwe gy’abawagize oba nga ddala byayogera mu lulimi olungereza abigenderera oba. Ono y’omu ku bayimbi abasobodde okutuuka University wabula ng’olungereza lukyabekubya empi.

Ono yavaayo gyebuvuddeko n’alaga nga bweyafuna obubonero 32 ku ddaala lya A’level mu 2013 so nga obubonero obusinga yo obungi ku ddaala eryo bwali 25 mubudde obwo.

Ono era yalemereddwa okwogera nnusu 200 ez’omusolo ogwateekebwa ku Social media, ate tubadde tukyali kw’ogwo byeyabadde ku mukutu gwa TV ogumu nalemererwa okufuna ekigambo ky’olungereza ekitegeeza Omukazi mu bungi. Mu kifo kya “Women yagambye “Womans”.

Omuwagizi we omu yavuddeyo namusaba atereeze oluzungu lwe oba aluveeko ye namuddamu nti Olungereza terumuleetera mmere ku mmeeza.