Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 161 listening Simba FM Live

Oluyimba lwa Property luzaalidde Fik Fameica ebizibu

August 12, 2020 · Mubiru Ali

Omuyimbi Fik Fameica atwaliddwa mu Kkooti lwaluyimba lwe olwa Property. Munnamateeka Prasidia Nagasha yaddukidde mu Kkooti nga agamba nti oluyimba luno lulina engeri gyerutyoboolamu omukazi n’omwana omuwala nga lumukkakanya okumutuusa kussa ly’okumuyita ekintu omuntu kyalinako obwannanyini n’ekyokulya nga chapati.
Prasidia ayagala Fameica wamu ne Producer eyakola oluyimba luno baveeyo betonde mu lujudde eri abakyala bonna mu nsi yonna wamu n’okuggyayo oluyimba okuva ku mikutu gyonna.