BREAKING NEWS
Observer: Uganda makes cattle vaccination mandatory Observer: Ten new airlines eye Uganda’s skies Pulse Uganda: Supporters flock Kira Police to see Erias Lukwago MBU: King Saha backs Portugal for 2026 World Cup, wants Ronaldo’s farewell triumph MBU: Kuseim The Baddest, Ayo Bassboi, and Chemical Ali Nicer share their proudest productions Pulse Uganda: JK Kazoora on why Gen Muhoozi is losing social media race Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Oluvannyuma lw’emyaka 12 Gavumenti esudde omusango gwevunaana Besigye

Omuwabi wa Gavumenti olunaku olwaleero avuddeyo nasuula omusango ogw’okusobya ku mukazi ogumaze emyaka 12 nga gubadde guvunaanibwa Rtd. Col. Kiza Besigye.

Ekiwandiiko ekisuula omusango guno kyaleteddwa Senior Assistant DPP David Ndamurani-Ateenyi nakikwasa Assistant Registrar wa Court of Appeal, Mr Ayebale Tumwebaze.

Okusinziira ku mulamuzi wa Kkooti enkulu John Bosco Katutsi, yavaayo nagamba nti Gavuementi yalemwa okuleeta obujulizi obumala okulaga nti ddala Besigye omusango yaguzza era bwatyo nasala omusango guno mu 2006 nti talina musango. Wabula bano bavaayo nebaddukira mu kkooti ejjulirwamu.

Dr. Kizza Besigye abadde avunaanibwa okusobya ku Joanita Kyakuwa, emirundi ebiri egy’enjawulo mu 1997 ne 1998 era nga Kyakuwa yaddukira ku Poliisi okuwaba omusango guno mu 2001.

Omulamuzi yagamba nti ku bajulizi omusanvu abaleetebwa Gavumenti, obujulizi bwa muntu omu Kyakuwa bwebwali busobola okukozesebwa. Wabula nti era nabwo bwalimu ebituli biyitirivu kuba yali tajukira lunaku na mwezi gwagamba nti mwebamusobezaako. Yalemwa n’okubala emyaka gyalina, nti era Besigye bweyamala okumusobyako yamulinda agende okumuleetera towel yelongoose nga kino kyayongera ebibuuzo ku muntu asobezeddwako okulinda amusobezaako amuleetere towel yesimuule.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply